Luga-flo rapper GNL Zamba has attacked Bukedde. In a lengthy post on Facebook, the rapper criticizes the paper for being very negative and lacking objectivity. He posted:
Ranting and tantrums isnt really my style but as i was reading through some material & i came to a conclusion that. That Bukedde Article March 1st 2015 is the silliest article I’ve ever read.
Kanjogere Luganda ntabikemu no’ luzungu olutono.
Bwensalawo okulinyisa edala lya music gwenkola kitwala ebanga abantu abamu nabo kibatwalira ebanga okumutegera no ku kwataganya mu bawagizi baffe. kyabulijo. Nebwetwali tetunava yo ngaba HipHop artist era amawulire tegatuwagira. Music gwenkola essawa zino omuwandisi wa article eyo ayinza okumutegera nga wayise ebanga ate nga album eno eya dreaming in color empya essawa zinno wenjogera nina show mu newyork, seatle ne atlanta (Festivals besides ugandan shows like UNNA) nga atte sina jitongoza mubawagizi bange aba East Africa. nze abawagizi bange sibavuma ngako era awo ompayiriza. ekika kya music ono gwe tukola (Hip Hop) omuntu bwavayo nga legend tupac shakur ,Talib kweli, Nas (Hate me now)nayogera kubata muyagaliza aba tavumye bamuwagira.(listen to the lyrics) The aggression in the music and self aggrandization is part of the culture, do not mis understand it and mis judge it. Totegera what hiphop is bwoba olowoza nyomba.(Listen to a few albums)
Ekilala, abasajja ba legend nga UB40, phill collins ne kenny rogers bwebajja okukola world tour ne mu uganda bajuza bisawe, naye kambuze, basembaddi okubera kukasigiri kamwe aka mpa akapya buli sawa?!!!!!
Eyo mentality esse quality ya music,nti buli omu affa kufulumya mangu nebwaba kasasiro abere ku chart(half baked in haste) nze sibwenkola. kiletera nabalala okulwana bakole amawulire mbu mubayogere ko.
IT HAS BECOME A MUSIC PLAY GROUND INSTEAD A MUSIC INDUSTRY.
Point endala, jotayogeddeko nga munamawulire nti mwena aba media houses intergrity yamwe ne love ya art ssente ezikira era ekintu mukyononye. Tekikwewunyisa nti neno article waliwo eyajisasulidde okutu fananya obubi(ITS BEEN DONE BEFORE AT YOUR PAPER)
Omuyimbi okumuzanya buli radio eyagala ssente ne presenter, ne banamawulire okukuwandikako ebizimba bagala ssente. ffe ba mama baffe tebalye?!!!!!!
when i perform on international music festivals you donot report how glorious those stories are for the country and how they inspire the younger generation but you sensationalize pictures of nude women and drunk musicians, where are your priorities?!!!!!
Siyombye naye okuwandika article bweti sooka wekube mu torch, Uganda nsiyange naye plannet jetuliko nene nyo, if m not making moves in Uganda, m definitely making moves in Europe, Asia and America.Am a wirtter, poet, business man, soon to become a Film director. chekinga tour dates zange. obwongo bujje munsuwa.
I am recording soundtracks for movies and video games, otunyumiza kubera nabu night mu bubala bwe kabalagala, ogwo gwoyitta omutindo?!!!!!!
Nze tongatika
BigEyeUg Staff